Ensi Yaffe Buganda
Mwelimba! Akaalo ka Buganda kada, akaalo kaliko nannyiniko.
Ekisinga okuluma abalabe kumanya nti Omuganda n'ensi ya Buganda tebawukana. Wabula bafubye, Omuganda ayimiride ekiseera kyonna!
28/02/2026
Muzzukulu munaffe agambye:
"I say this to everyone who doesn’t understand the meaning of central region language. [It is language of the enemy of Buganda]. Personally I don’t recognize Uganda as a country... When asked where I come from the answer is always the Kingdom of Buganda. Google it."
Wewaawo Muzzukulu munaffe: "Buganda endi mumutima era nenyumiriza mubuwangwa bwange. Nesimye okuba Omuganda."
25/02/2026
"Katonda bweyamala okutonda abantu, yamanya nti abantu be b'atonze, okubeera nga bali wamu, nga bafugika, yalina okubateeka mu bufuzi bw'Obwakabaka obuli ku musingi omugumu ate nga mulunngamu. Buli nsi yagiteekamu Obwakabaka bwayo, Obulombolombo bwayo, n'ennono bya njawulo buli nsi mu butonde. Abasinga baakyusa mu butonde ne bayiiya obufuzi bo ng'abantu, ne batandika okuvuganya ku bufuzi bwe beegunjirawo nga bagamba nti bwe bufuzi obw'omulembe. Tebaakoma awo ate ne baagala fenna tugoberere bo kubanga be batusinga okutegeera. Obwakabaka bwaffe ne babudibya so nga mu Nnono bwanywerera ku masiga asatu:-
1. Abataka abakulu b'Obusolya. Bano nabo bayimiridde ku miteeko esatu; Bakabona, Masiga, n' Abemituba n'e Nnyiriri.
2. Bakabona abayitibwa Abafumu. Kabaka alonda Ssaabafumu omulondera abakugu mu kulaba ebyaliwo, n'ebinaabeerawo, n'abavumuzi.
3. Abaami abalonde nga bakulemberwa Katikkiro okutuukira ddala ku Mutongole. Waliyo n' Ebitongole ebyetongodde."
Dr A. kimala, 1998, p. 7-8
25/02/2026
Muzzukulu munaffe kyowandiise eky'okuba nga omulabe agezeko okusangulawo erinnya ly'ensi yaffe Buganda kituufu era kyantadiikira ku Mungereza. Bweyalemerewa, kwekutekawo Obote akitammbuze naye era nebigaana. Leero Yoweri Museveni Omunalwanda Omututsi omugwira kawefube y'omu gwaliko - kugyawo erinnya lya nsi Buganda nga agituma mbu central/masakati/makati. Era ebiseera ebisinga kwetumanyira abantu abamukolera nga bakozesa ebigambo nga central mukifo kya Buganda. Oba abantu abatagala Buganda obawurira nga bemagalaza mbu central region.
Kyetulina okukola kwekuleemera ku nsonga obutabawa mwaganya, nga n'abaana baffe bwetubajjukiza nti ensi yabwe eyitibwa Buganda, bagende okusoma bi mapuu by'omulabe eby'obulimba nga bategera nti byabubbi.
Gwe wenna akyabusabusa byetwogera nti ensi yo Buganda bagala kugisanyawo nga bagigyako erinnya lyayo, webuuze lwaki ensi enddala (amawanga 14 agakola kyetuyita Uganda mu 1962) zo amaanya gazo bagatekako ate Buganda nebagiyita central? Lwaki?
______________________________________
"Erinnya Buganda bagezezzaako okulijja ku map nebyafaayo bya Buganda ne Uganda. Nalabyeyo map egenda okusinziirwako okugaba subsidies zabyokulima nga ensigo nebirala nga bayawuddemu Uganda okusinziira ku bitundu byamawanga 15 nga bwegaayitibwanga naye ekyewuunyisa bwebaatuuse ku Buganda baagyawuddemu ebitundu bisatu- Masaka, Mengo ne Buruli, nebeewala erinnya Buganda. Ebitundu ebirala babimenye amannya nga Bugisu, Karamojja , Ankole, Kigezi, Busoga, Acholi etc. oluusi bakozesa Central 1, central2, Kampala, neweebuuza mu Kampala mulimu farm meka ezeetaaga obuyambi era lwaki ebibuga ebirala nga Mbarara bbyo tebaayiseey Mbarara!"
Click here to claim your Sponsored Listing.
Category
Website
Address
Kampala